Psalms 97

1 a Mukama afuga; ensi esanyuke,
n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 bEbire n’ekizikiza bimwetooloola;
obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 cOmuliro gumukulembera
ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 dOkumyansa kwe kumulisa ensi;
ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 eEnsozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 fEggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

7 gAbasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

8 hSayuuni akiwulira n’asanyuka,
n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 iKubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 jAbo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 kOmusana gwe gwakira abatuukirivu,
n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 lMusanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
Copyright information for LugEEEE